Breaking
News: Okwewandiisa mu Ngule kwaguddwawo e Bukoto ku Simba ate kwabwereere. News: IGG agudde emisango ku Chris Obore ne banne abalala 6 era nasaba basindikubwe mu Kkooti Enkulu bavunaanibwe emisango egyekuusa ku bukenuzi News: Awali Omukka-Ssewandagi-Balaam okuswaza Nameere Omuganda ogenderera ki? Obikola eno ate e Bunyoro?
ON NOW Tokammalirawo ▶ UP NEXT Mukulikeeyo 4:00 PM - 6:00 PM
Now Playing ยท 195 listening Simba FM Live
tokammalirawo show photo

On Air

Tokammalirawo

Sureman Segawa

2:00 PM - 4:00 PM 2:00 PM - 4:00 PM

Asse mukwano gwe lwa mukazi – Busia

January 19, 2017 · Mubiru Ali

Police y’e Busia egombyemu obwala omusajja Brian Ibrahim Obbo ne muganziwe olw’ebigambibwa nti yasse mukwano gwe Essay Napoyet lwa kuganza mwagalwawe.

Sowali Kamulya, omwogezi wa Police mu bitundu bya Bukedi agamba nti muganzi wa Obbo, Sheron Akollo bamulina.

Agamba nti bano oluvannyuma lw’obutemula Napoyet, baagezezzaako okumalamu omusulo ku lwokusatu naye Police neebagombamu obwala ng’eyambibwako abatuuze.

Kamulya annyonnyola nti bino okubaawo, entabwe yavudde ku Napoyeti kati omugenzi okusanga Obbo ne Akollo mu kafo akanywerwamu ku kyalo Nagwe ekisangibwa mu bukiika ddyo bwa Municipaali y’e Busia, Wabula Napoyet n’agezaako okuzza Akollo ku bbali ekyaggye Obbo mu mbeera era bwatyo n’ayita banne okukkakkana nga bamukubye nebamutta.