Asse mukuumi munne

Poliisi y’e Mukono ekutte omukuumi w’ekitongole ky’obwanannyini ku bikwatagana n’okutta munne e Sseeta. Joel Odeke Okurut PSG/127 nga mukozi wa Pyramid Security Group yasse munne bwebadde bakuuma ku ssomero lya St. Catherine mu Sseeta.

Okurut olwamaze okutta munne nasuulawo emmundu zombi weyatidde munne naddukira ewa Mukadde amuzaalira omukyala e Naggalama nebamutwala ew’omusawo w’ekinnansi. Okurut bweyamaze okunyumya emboozi eno, Omukadde yayise owa Defence eyefudde amuwerekerako okumutwala ew’omusawo w’ekinnansi namutwala ku Poliisi y’omu Nkonge nakwatibwa.

OKurut bweyabuuziddwa lwaki yasse munne yagambye nti mizimu gyegyamuleetedde kino.

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

More Stories
Democratic Alliance to choose joint presidential candidate in September.