Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule yanguwako ngobudde bukyaliyo tukulinze wano ku simba e Bukoto okiikirire ekika kyo News: Nekigendererwa ekyokukendeeza obubenje ku nguudo, Uganda Police Force evunaanyuzibwa ku bidduka ngeri wamu nabakungu okuva mu Minisitule News: Luggya Bossa Tabula ne kizibwe we Luggya Noah bakirizza omusango gwokutta eyali akulira ekika kyEndiga Lwomwa omubuze Eng. Kakeedo Bbosa Luggya mu
ON NOW Tokammalirawo ▶ UP NEXT Mukulikeeyo 4:00 PM - 6:00 PM
Now Playing ยท 437 listening Simba FM Live
tokammalirawo show photo

On Air

Tokammalirawo

Sureman Segawa

2:00 PM - 4:00 PM 2:00 PM - 4:00 PM

Asse mukazi we n’adduka – Mukono

January 31, 2018 · Mubiru Ali

Police mu Disitulikiti y'e Mukono eri ku muyiggo gwa musajja agambibwa okukkira mukyala we n'amumiza omusu n'assaako kakokola tondeka nnyuma okuva ku kyalo Bugoba – Sseeta ekisangibwa mu Munisipaali y'e Mukono. 

Omusajja ono ategeerekeseeko lya Lubwama nga yakazibwako lya Musiraamu y'akkidde mukyala we Lydia Nabukeera myaka 26 n'amuserengesa ekalannamo. 

Police n'abatuuze mu kitundu kino bakyasobeddwa eka ne mu kibira kubanga batubidde n'omulambo gwa Nabukeera kubanga tebamanyi wadde wa luganda lwe yenna. Ofiisa wa Police avunaanyizibwa ku Kunoonyereza ku buzzi bw'emisango ku Mukono Central Police Station,  Ibrah Batasi akakasizza bino era n'ategeeza nti okuyigga Lubwama kugenda mu maaso ate omulambo gutwaliddwa mu ddwaliro e Mulago