Breaking
News: Gasimbagane-Rwomushana-UPDF okugenda e Gaza tugenda mu bulabe. Ente okufa obutwa, Govt eriwa? News: OLUTINDO-Mukose-Enaku eri mu basement, waliwo abalina ebituli mu magulu nga babayisaamu drill News: Okwewandiisa mu Ngule kusembedde anti kutandika ku Bbalaza nga 1082026 e Bukoto ku Simba.
▶ UP NEXT Gospel Show 7:00 AM - 9:00 AM
Now Playing · 132 listening Simba FM Live

Asse muganzi we agombeddwamu obwala Police – Rakai

August 2, 2016 · Mubiru Ali

Isaac Mwesigwa myaka 30 agambibwa okutta muganzi we Rose Najjemba myaka 24 yaagombeddwamu obwala Police e Rakai era kati atemeza mabega wa mitayimbwa .

Kigambibwa nti abaagalana bano baafunye obutakkaanya nga Mwesgwa agaana Najjemba okugenda mu Kaliyoki wabula omukyala n’awalaza empaka era nti Mwesigwa n’agenda ng’amukuba , oluvannyuma kwekusanga omulambo gwa Najjemba mu kagga k’e Lwanda  mu Rakai ‘

Ayogerera Police mu bitundu by’e Masaka Ibin Ssenkumbi agamba nti omuvuka Isaac Mwesigwa Police emaze okumugombamu obwala era ebakanye n’ogwokunoonyereza .