Breaking
News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa matendo etinta tinta ku abiri mu ettaano. News: Chairperson wa UWOPA Agnes Auna avuddeyo nategeeza nga bwatagenda kutiisitiisibwa Kabanda. News: Abakungu okuva mu Immigration bavuddeyo nebakakasa nga Munnamateeka era omulwanirizi weddembe Aloikin Praise Opoloje bweyakwatiddwa ku kisaawe
ON NOW Emambya ESaze ▶ UP NEXT Binsangawano 6:00 AM - 10:00 AM
Now Playing · 36 listening Simba FM Live
emambya show photo

On Air

Emambya ESaze

Kakos Soldier

Waking you up very early, with thrilling stories… 4:00 AM - 7:00 AM

Asasiridde muganzi we amasasi agamuttiddewo – Makindye

July 27, 2017 · Mubiru Ali

Musajja mukulu Suleiman Musoke atemera mu gy’obukulu 40 aliko muganzi we Birabwa Nabona gwasasiridde amasasi agamuttiddewo mu Muwama zzooni  e Makindye ku nkingiizi z’ekibuga Kampala ye n’abulawo 

Luboggola Simba eyogeddeko n’omwogezi wa Police mu Kampala n’emiriraano, Emilian Kayima n’akakasa bino era n’agamba nti kigambibwa nti bano babadde n’enkaayana nnyingi nnyo era nti omulambo guggyiddwawo Police negutwalibwa mu ggwanika e Mulago nga okunoonyereza bwekugenda mu maaso.

Kayima ayongeddeko nti bamaze okutegeeza ebitongole by’ebyokwerinda byonna omusajja ono w’alabirwako akwatibwe era avunaanibwe mu mbuga z’amateeka.