Breaking
News: Musveni toli mubi nnyo okutuuka ku ssa eryo, naye tukukolere ki otuviire mu mirembe Ssebo – Abdallah News: Mukulu Odonga Otto CV nga nnene gyataddewo, kati ayagala Hon. Daudi Kabanda ayanukule ki? News: Gen. Kahinda Otafiire Lwakiri nfiira ku magulu nga nnwana okusinga okuwangaalira ku maviivi gange nga nsaabiriza….
ON NOW Emambya ESaze ▶ UP NEXT Binsangawano 6:00 AM - 10:00 AM
Now Playing ยท 152 listening Simba FM Live
emambya show photo

On Air

Emambya ESaze

Kakos Soldier

Waking you up very early, with thrilling stories… 4:00 AM - 7:00 AM
News

Arinaitwe Bwana avunaaniddwa gwakusobya ku mukozi wa waka

August 10, 2023 · Mubiru Ali
Omwogezi wa Uganda Police Force SCP Fred Enanga avuddeyo nateegeza nga ekitongole kya SGBV/TIP ku kitebe kya bambega nga kikole wamu ne Poliisi y’ettundutundu lya Kampala Metropolitan Police South, olunaku olwaleero bwebagudde omusango ku D/SP Arinaitwe Gilbert Bwana, ngakola mu kitongole ky’ebyokwerinda ekya Crime Intelligence emisango gyokukukusa abantu n’ekigendererwa ekyokwegatta nabo ku buwaze. Ono asimbiddwa mu maaso g’omulamuzi wa Kkooti ya Buganda Road navunaanibwa.
Kigambibwa nti Arinaitwe yaleeta omuwala ow’emyaka 23 okuva mu Disitulikiti y’e Ntungamo okukola ng’omukozi wa waka wabula kigambibwa nti ate ono yamukaka akaboozi emirundi egiwerako mu maka ge e Bbandwe – Nalumunye nga 25-7-2023. Poliisi egamba Arinaitwe yakwatibwa era nanoonyerezebwako, nga olwaleero bamututte mu Kkooti avunaanibwe nga n’emisango emirala bakyalinda ebinaava mu DNA balyoke bagimugguleko.