Breaking
News: Aneewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso buli lunaku e Bukoto ku Simba. News: Abantu 4 abagambibwa okutta eyali omuduumizi wa Kkiraabu ya SC Villa David Owor, baleeteddwa ku Kkooti yOmulamuzi we Makindye okusomerwa emisango News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu!
▶ UP NEXT Wolokoso 9:00 AM - 10:00 AM
Now Playing ยท 313 listening Simba FM Live

Arcade ezimu zakuggulwawo – Pulezidenti Museveni

July 21, 2020 · Mubiru Ali

Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni;”Bannassaayansi bekkaanyizza arcade nebakizuula nti omugotteko mungi nnyo mu bifo bino. Nga tugoberera okuwabulwa kwabwe tugenda kuggulawo arcade ezimu nga zirina bino; temperature guns, social distance, okunaaba engalo, teri basuubuzi mu nkuubo, ku maddaala, embalaza, nekunguudo. Abagula ebintu bonna balina okuwandiikibwa okulaga gyebababeera ne nnamba ya ID, abakola mu madduuka ago balina okwewaawo ebbanga, teri kukozesa AC, buli omu alina okwambala mask, obuyumba obukyamirwamu obuwera ezitalina bumala tujja kuzigalira ddala. Mu Kampala mulimu arcade 230, nga zonna zifudde Yuganda akatale ka China, India Dubai.”