Breaking
News: Uganda buli kimu kifu, owola otya omuntu obukadde 50 ngalina okukuwa amagoba obukadde 250! Mususse! News: Bano tebatumalira budde tebali ku mutindo gwa Ngule. JJ agobye abakontanyi ebibuuzo bibalamye! News: Bano Engule ya Radio Simba bajja kugirojja obulamu bwonna!
ON NOW Tokammalirawo ▶ UP NEXT Mukulikeeyo 4:00 PM - 6:00 PM
Now Playing ยท 395 listening Simba FM Live
tokammalirawo show photo

On Air

Tokammalirawo

Sureman Segawa

2:00 PM - 4:00 PM 2:00 PM - 4:00 PM

Anti Corruption Unit ekutte Labour Officer wa Disitulikiti y’e Kikuube

April 22, 2022 · Mubiru Ali
Akakiiko akalwanyisa obuli bw’enguzi n’obukenuzi aka Anti Corruption Unit – State House Uganda nga kali wamu ne Uganda Police Force kakutte Mpuga Arthur, Labour Officer wa Disitulikiti y’e Kikuube ngera ye Ssentebe wa Bunyoro Tulihamu Cooperative Society, olwokukozesa obubi ebintu bya Cooperative.
Kigambibwa nti Mpuga nga ali wamu ne Munguryek E, Secretary for works ne Muganzi S, District Principal Assistant Secretary, nga bano nabo ba mmemba ba Bunyoro Tulihamu Cooperative Society bakozesa bubi obuyinza bwabwe nebapangisa tulakita ya Gavumenti eyabaweebwa mu Cooperative bbo okwefuniramu ensimbi.