Breaking
News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa matendo etinta tinta ku abiri mu ettaano. News: Chairperson wa UWOPA Agnes Auna avuddeyo nategeeza nga bwatagenda kutiisitiisibwa Kabanda. News: Abakungu okuva mu Immigration bavuddeyo nebakakasa nga Munnamateeka era omulwanirizi weddembe Aloikin Praise Opoloje bweyakwatiddwa ku kisaawe
ON NOW Simba Sports ▶ UP NEXT Neyimbira Byange 2026 9:00 PM - 12:00 AM
Now Playing ยท 290 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Sports

Wooto Walusimbi - Nampala Yusuf

Evening Sports 8:00 PM - 9:00 PM

AMISON yeetaaga okuyambibwako e Somalia – Gen.Katumba

January 4, 2017 · Mubiru Ali

Omuduumizi w’eggye lya Yuganda General Katumba Wamala asabye amawanga ageebunaayira okukwasizaako omukago ogutaba amawanga agali ku Ssemazinga Afirika ogwa AMISOM abakuuma obutebenkevu mu ggwanga erya Somalia.ย Agamba nti singa kino kikolebwa kiggya kwongera okunnyikiza emirimu gy’omukago guno.

General Katumba abituuseeko ku bugenyi bwaliko obw’ennaku essatu mu ggwanga erya Somalia era n’agamba nti eby’okerinda byongedde okunywezebwa mu ggwanga lino.

Bino abitegeezezza abajaasi abeegattira mu mukago gwa AMISOM nga bali mu kibuga Mogadishu.

Katumba Wamala era asiimye nnyo n’omulimu ogw’amaanyi abajaasi gwebakoze mu byokulonda kwa Somalia.

Asobodde n’okukambula ku mukulembeze w’eggwanga lino, Hassan Sheikh Mohamud ate n’ayogerezeganyaamu ne munne bwebafaanaganya emirimu owa Somalia, Maj Gen. Mohamed Adam Ahmed nga ensisinkano ebadde mu maka goobwa Pulezidenti mu kibuga Mogadishu.