Breaking
News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba! News: Omuyambi wa Rtd. Col. Dr. Kizza Besigye bwebavunaanibwa mu Kkooti Enkulu, Hajj.
ON NOW Tokammalirawo ▶ UP NEXT Mukulikeeyo 4:00 PM - 6:00 PM
Now Playing ยท 346 listening Simba FM Live
tokammalirawo show photo

On Air

Tokammalirawo

Sureman Segawa

2:00 PM - 4:00 PM 2:00 PM - 4:00 PM

amayembe gagazza essomero e mityana

March 5, 2019 · Mubiru Ali

Ab’obuyinza e Mityana bawaliriziddwa okuggalawo essomero lya Mityana Junior School erisangibwa mu Mityana Municipality kubigambibwa nti amayembe galumba abayizi.

Essomero lino nga lya Church of Uganda era nga okuva kuntadikwa y’olusoma luno abayizi babadde tebakyatereera mu bibiina nga bagamba nti waliwo ekimbe ekibalumba nga n’abasawo mu malwaliro agalinaanyewo kibalemye okuzuula.

Ku balaza abayizi abasoba mu 30 basiiba bekalakaasa era nebagaana n’okuyingira mu bibiina nga bagamba nti abamu ku basomesa baabwe baleeta eby’okoola nebabisimba mu bifo eby’enjawulo okwetoloola essomero nga bagezaako okukuuma emirimu gyabwe.

Omukulu w’essomero Rev. Wilberforce Sseguya yalangiridde nga essomero bwerigaddwawo oluvannyuma lw’okwevumba akafubo n’omumyuka wa Resident District Commissioner, Mr Issa Ntumwa.

Rev. Sseguya agamba nti abaana babadde balekaana nga abalina ekikyaamu ku mitwe nebagezaako okubawa obujanjabi wamu n’okusaba naye nga mpaawo kikyuuka.

Rev. Sseguya agamba nti abamu ku bazadde n’abasomesa bamusabye aleete abasawo b’ekinnansi ekirowoozo kyeyagaanye.