Breaking
News: Bobi Wine erinnya lya Ssentamu lya lugero oluggwayo nti? Ku myaka 64 egyamefuga M7 afuzeeko emeka? News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya etinta era ekyatinta. News: Tubaagaliza olunaku lwamefuga olulungi.
▶ UP NEXT Wolokoso 9:00 AM - 10:00 AM
Now Playing ยท 154 listening Simba FM Live

Amataba gasse omuntu omu e Mbale

July 31, 2022 · Mubiru Ali
Kitalo!
Omuntu omu akakasiddwa okuba nga afiiridde mu mataba agasazeeko ekibuga Mbale oluvannyuma lwa namutikwa w’enkuba eyatonnye okuva ku ssaawa bbiri ez’ekiro ku lunaku olw’omukaaga okutuusa amakya galeero ku Sunday neleka amazzi nga ganjadde e Namabasa, Busajabwankuba, Busamaga, Nkoma, Milo taano n’ebitundu ebirala.
Kigambibwa nti amazzi mu migga Namatala ne Nashibiso gabooze neganjaala mu bitundu ebirinaanyeewo.