amasomero mwegendereze abafere – UNEB

Ekitongole ekivunaanyizibwa ku bigezo mu ggwanga ekya UNEB kirabudde ku bafere abatandise okukubira abaddukanya amasomero agatali gamu amasimu nga babasaba ssente nti balame kusazaamu byava mu bigezo.Kino kidiridde ebyafulumidde mu mawulire ng’ekitongole ky’ebigezo kitegeza nga bwe kigenda okufulumya ebyava mu bigezo by’omwaka oguwedde. Era ng’ebya P.7 (PLE) bisuubirwa okufulumizibwa wiiki ejja. Wabula Ssabawandiisi wa UNEB Daniel Nokrach Odongo ategeezezza mu kiwandiiko ekyafulumiziddwa nti abaddukanya amasomero balina okuba obulindaala obutagwa mu katego ka bafere abatandise okukuba amasimu nga babalimba nti abayizi baabwe beenyigira mu mivuyo gy’okukola ebigezo era bigenda kusazibwamu n’olwekyo babawe ssente kino kireme kubaawo.Odongo agambye nti omuntu yenna atuukirirwa ku ssimu mu mbeera eno agende ensonga azitwale ku poliisi

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

More Stories
Abantu 10 bebafiiridde mu kabenje k’ennyonyi mu nsozi z’e Aberdare mu Kenya