Radio Simba – Ennene

Kampala 97.3 FM Mubende 92.1 FM

amasomero abiri gagaddwa e ssembabule

Abakulira eby’enjigiriza, ab’ebyokwerinda wamu n’abakulembeze ba Disitulikiti y’e Ssembabule nga bakulembeddwamu RDC Mathias Kintu Musoke bagadde essomero lya Twesigye Bright Primary School erisangibwa e Ntuusi. Bano balagidde abayizi okudda ewaka nga ensonga erigazza lwakusomesa bayizi nga tebalina layisinsi.
Era essomero lino lyasangiddwa n’ekisulo ky’abayizi nga basuzibwa mu mbeera etali mu mateeka. Abakulembeze baakoze ekikwekweto okufeffetta amasomero agatalina bisanyizo wamu n’ago agalina ebisulo nga tebituukana na mutindo ogulambikibwa Minisitule y’ebyenjigiriza.
Ebisulo by’amasomero 5 byebagaddwa oluvannyuma lw’okusangibwa nga basuza abayizi wansi ku ttaka, obutabeera nabizikiriza muliro, saako obutabeera na kabuyonjo nga zimala abayizi wamu n’abasomesa.
Mu bisulo ebyaggaddwa kuliko n’ebyo eby’amasomero ga Gavumenti okuli St clement Ntuusi primary school ne Lwemiyaga Church of Uganda nga RDC yakakasizza nti ebikwekweto bino bikyagenda mu maaso nga batunuulidde amasomero 74 agali ku lukalala olwobutaba na bisaanyizo

Leave a Reply

eskort escort mersin kahramanmaraş escort niğde escort