Breaking
News: Okwewandiisa mu Ngule kwaguddwawo e Bukoto ku Simba ate kwabwereere. News: IGG agudde emisango ku Chris Obore ne banne abalala 6 era nasaba basindikubwe mu Kkooti Enkulu bavunaanibwe emisango egyekuusa ku bukenuzi News: Awali Omukka-Ssewandagi-Balaam okuswaza Nameere Omuganda ogenderera ki? Obikola eno ate e Bunyoro?
ON NOW Emboozi Kafunda Live ▶ UP NEXT Olutindo 7:00 PM - 8:00 PM
Now Playing ยท 302 listening Simba FM Live
emboozi show photo

On Air

Emboozi Kafunda Live

Kalebule

6:00 PM - 7:00 PM 6:00 PM - 7:00 PM

Amasomero 24 gaggaddwa e Mubende

February 1, 2017 · Mubiru Ali

Amasomero 24 gaggaddwa ab’ebyenjigiriza e Mubende ekisattizza abazadde gebagamba nti gandizza omutindo gw’ebyenjigiriza emabega.

Kino nno kiddiridde abavunaanyizbwa ku masomero mu magombolola omuli ey’ e Kibalinga, Kitenga, Kiganda awamu ne Municipaali ey’ e Mubende, gebagamba nti temuli bisaanyizo omuli entebe, ebizimbe, Layisinsi, gattako n’ebisaawe abaana mwebazannyira.

Norah Mbabazi ng’ono mukiise ku lukiiko lwa Disitulikiti e Mubende ategeezezza nti embeera ย eno y’akukosa ebyenjigiriza mu kitundu olwokubanga abayizi abasinga okukola obulungi e Mubende bava mu masomero ga bwa nnannyini.