Breaking
News: Omulamuzi wa Kkooti Enkulu Alex Ajiiji abadde mu mitambo gyOmusango gwabatta Suzan Magara avuddeyo nasiima Ssaabaduumizi wa Uganda Police Force News: Kkooti Enkulu mu Kampala esalidde Hajarah Nakandi ne Buwembo Musa aka Abas ekibonerezo kyakuttibwa lwakuwamba ne batta Susan Magara 28. Abantu News: Olunaku olwaleero Ababaka ba Palamenti abatuula ku Kakiiko ka Palamenti akavunaanyizibwa ku byokwerinda bakunyizza abakungu okuva mu bitongole bya
ON NOW Binsangawano ▶ UP NEXT Simba Taxi 10:00 AM - 1:00 PM
Now Playing ยท 1,237 listening Simba FM Live
binsangawano show photo

On Air

Binsangawano

Ndausi - Julius Kidomole - Mbabali

Morning show 6:00 AM - 10:00 AM
News

Amasomero 2 gagaddewo lwa Nyege nyege e Jinja

November 10, 2023 · Mubiru Ali
Essomero lya Victoria Nile Primary School n’erya Summit Nursery and Primary School e Jinja nga gano galiraanye ekifo awali entujjo ya Nyege Nyege gaggaddwa okutuusa nga ekivvulu kino kiwedde.
Okusinziira ku akulira eby’enjigiriza mu kibuga Jinja, Haruna Mulopa kino kikoleddwa okutangira abaana abato okulaba emize egibeera mu ntujjjo eyo.
Ab’obuyinza bagamba abayizi bwebabeera bagenda oba nga bava ku ssomero bayinza okulaba ebikolwa by’abadigize ebitasaana n’ekibaviirako okubikoppa nebonooneka.
Amasomero agaggaddwa galiraanye ebifo okuli Golf Club, Source of the Nile, Rugby Grounds, and National Agriculture Showground nga bino entujjo ya Nyege Nyege mweyindira.