Breaking
News: Katikkiro Charles Peter Mayiga Akawungeezi ka leero ŋŋenzeeko mu maka gomugenzi Alex Mukulu, okukubagiza abenju nabooluganda olwokuviibwako News: Olutindo -Kakande- Kivumbi tanatereera. Balaam tamanyi kyakola, kati awoze order mbu yali advise. News: Okwewandiisa mu Ngule kugenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. Tukulinze
ON NOW Binsangawano ▶ UP NEXT Simba Taxi 10:00 AM - 1:00 PM
Now Playing · 509 listening Simba FM Live
binsangawano show photo

On Air

Binsangawano

Ndausi - Julius Kidomole - Mbabali

Morning show 6:00 AM - 10:00 AM

Amasiro ge Kasubi gawa essuubi

August 30, 2019 · Mubiru Ali
Olwa leero Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga, Omulangira Cryspin Jjunju Kiwewa, Baminisita ba Kabaka, balambudde omulimu gw’okuddaabiriza ennyumba Muzibwazalampanga wegutuuse.
Egimu ku mikolo egikoleddwa olwa leero, Omulangira Cryspin Jjunju Kiwewa asimbye empagi ku Wankaaki wa Muzibwazalampanga nga akabonero akategeeza nti ekiseera eky’okuwunda Wankaaki kituuse. Omukolo gw’okusimba empagi eno gwa nnono era gukolebwa Kiwewa. Empagi esimbiddwa yemu kwezo ezitambuza oluggi lwa Wankaaki.
Mu kwogera kwe, Katikkiro agambye nti okutwaliza awamu omulimu gutambula bulungi era tewali kyelaliikiriza kubanga bagoberera ennono, emisoso n’emikolo egy’ennono egikolebwa ku Muzibwazalampanga.
Omulangira Jjunju Kiwewa atuuse okusiima kwa Ssaabasajja era awadde abagirinya embuzi olw’okubeebaza okusereka Muzibwazalampanga.
 
Minisita w’obuwangwa, ennono n’obulambuzi, David Kyewalabye Male, agambye nti oluvannyuma lw’omulyango gwa Bwanga okuggwa, emirimu egisigadde gyakwanguwa kubanga omulangira Jjunju Kiwewa akoze emikolo egyetaagisa.