Amasannyalaze gamukubye n’afiirawo

Waliwo omusajja Geoffrey Kasibante akubiddwa amasannyalaze n’afiirawo akawungeezi ka leero  ku William Street mu Kampala wakati.

Kasibante nga kati z’embuyaga ezikaza engoye alinnye ku ttaka ebbisi okuliraana ekifo omuli Transfomer awatambulirwa ab’ebigere.

Omwogezi wa Police mu Kampala n’emiriraano, Luke Oweyesigyire agambye nti Police edduse mangu okutuuka mu kifo kino era Kasibante n’addusibwa mu ddwaliro e Mulago gy’afiiridde ng’atuusibwa bwati era wetogerera omulambo gutwaliddwa nu ggwanika ly’eddwaliro lino.

Kinajjuklirwa nti ekitongole ekizikiza omuliro mu bbanga lya ssabbiiti bbiri eziyise kyalambika abantu engeri y’okukuumamu obulamu bwabwe mu biseera by’enkuba bino, nti basaanye okwewala Transformers, waya z’amasannyalaze, obutatambulira mu bigere, emiti gy’amasannyalaze egigudde n’ebirala.

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

More Stories
Akalulu nkyakalimu – Hasubi