Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule tukulinze wano e Bukoto ku Simba ennaku zonna. News: Eggwanga lyabantu eritawena, omusajja yenna okuwasaayo omukazi alina kutwalayo musota singa gumulema okuwaayo omukazi aba amusubiddwa. News: Gasimbagane-Rwomushana-Ku mwenge Balaam atuuse wayabikira, byakola biweddeyo. Express way saga…..
ON NOW Mukulikeeyo ▶ UP NEXT Emboozi Kafunda Live 6:00 PM - 7:00 PM
Now Playing · 237 listening Simba FM Live
mukulikeeyo show photo

On Air

Mukulikeeyo

Kasagazi Tumbeetu - Flosh

Evening show 4:00 PM - 6:00 PM

Amasabo getaaga kwokya – Mutabazi

November 14, 2018 · Mubiru Ali

Ssentebe wa Disitulikiti y’e Lwengo, Godfrey Mutabaazi alagidde abatuuze basaanyewo amasabo agajjudde mu Lwengo agagambibwa nti ge gaviirideko ekitta bantu n’ekisaddaaka baana ekikyaase mu kitundu kino.
“Wabula Mutabaazi ndabye, bulijjo mu mawulire bampandiikakonti maze ennyumba z’essubi mu Lwengo naye abasamize mu kinkoze. Kino atooba kissusse, eggombolola emu bweti okuba ng’erimu amasabo 500?
Kaakati y’essaawa abatuuze mutandikirewo okwokya amasabo gano ndabe omusamize anabavunaana? Mutabaazi bwe yategeezezza.
Okwogera bino yasinzidde mu lukiiko mu ggombolola ye Kisekka n’alagira abatuuze okuteeka mu nkola ekiragiro kino alabe omusamize anavaayo okumwesimbamu.
Yalabudde abakulembeze abanagezaako okulemesa enteekateeka nti ajja kubaamula ku bukulembeze sinakindi abawewenyule kibooko.
Ekiragiro kya Mutabaazi kiddiridde Pulezidenti Museveni
okukyalako mu Lwengo wiiki ewedde n’alagira RPC Ratiifu Zaake okukwata abasamize abavuddeko okutta abantu n’okusadaaka abaana ekivuddeko ettemu
okweyongera mu ggwanga. Abantu munaana be baakattibwa mu bbanga lya myezi esatu.