Breaking
News: Okwewandiisa mu Ngule kugenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. Yanguwako tukulinze. News: Hon. Amelia Kyambadde atabukidde eyali Omubaka Hon. News: OLUTINDO-Hon. Ssekitooleko-Omusolo gwowa olina gulabira Mulago mu Ddwaliro! Omusolo gususse gulagawa
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing ยท 355 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

Amalwaliro ga Gavumenti e Mityana geeraliikiriza

November 3, 2017 · Mubiru Ali

Abakungu abalondoola eby'obulamu okuva mu yafeesi y'omukulembeze w'eggwanga balambudde emirimu egikolebwa mu malwaliro ga Gavumenti agali mu Disitulikiti  y'e Mityana era ng'eno bingi ebizuuliddwayo ng'ebimu biva ku bunafu bw'abasawo n'abakulira amalwaliro gano ekintu ekiviirako abalwadde abagagendamu okulumwa obujiji.

Ekibinja ky'abakungu kino kikulembeddwamu akulira ekitongole ekirondoola empeereza y'emirimu mu malwaliro ga Gavumenti okuva mu yafeesi y'omukulembeze w'eggwanga nga ye Jjumba Ponsiano, ng'ono agambye nti bingi ebizuulidwa omuli abasawo okwebulankanya ku mirimu,okubulankanya eddagala, okutulugunya abalwadde nebirala.

Kino kibawalirizza okukuba olukungaana olw'abantu bonna okusobola okuwuliriza ensonga zaabwe era bangi ku bantu nebawa ensonga zaabwe nga muno mwemubadde n'abamu ku bakyala abakulukusizza amaziga.

Era abantu bategezezza nga olumu abasawo bwebabasindika ebweru w'eddwaliro mu bulwaliro obubaliraanye kyokka abamu ku basawo mukwanukula bagambye nti waliwo ebyuma ebyafa nga tebikyakola nga ekikuba ebifaananyi (Scan) so nga waliwo n'abamu ku basawo ababadde beekwasa nga bwebaweebwa omusaala omutono nga tezibamala