Breaking
News: Awali Omukka-Ssewandagi-Balaam okuswaza Nameere Omuganda ogenderera ki? Obikola eno ate e Bunyoro? News: Yiino kkampuni ekoze tisaati ngomuntu ogyambalira omwezi gumu nga tagyozezza. News: Gasimbagane-Rwomushana-UPDF okugenda e Gaza tugenda mu bulabe. Ente okufa obutwa, Govt eriwa?
ON NOW Binsangawano ▶ UP NEXT Simba Taxi 10:00 AM - 1:00 PM
Now Playing · 1,564 listening Simba FM Live
binsangawano show photo

On Air

Binsangawano

Ndausi - Julius Kidomole - Mbabali

Morning show 6:00 AM - 10:00 AM

Amakumpini galina okuddiza ebitundu mwegakolera – Mmeeya wa Kawempe

December 21, 2016 · Mubiru Ali

Mmeeya Divizoni y’e Kawempe, Emmanuel Sserunjogi asabye amakampuni agali mu Divizoni ye galeme kukuuliita na magoba gonna gegakoze wabula gagezeeko okujjukiranga okuddiza ku kitundu mwegakolera enkulaakulana esobole okutinta.

Sserunjogi agamba nti amakampuni njolo agali mu kitundu kino, agamu nga gasaasaanidde amawanga mangi agenjawulo ate amalala nga gakoma wano wokka mu Kawempe, wabula matono ku ago agaddiza ekitundu kino.

Bw’abadde ayogerako eri abantu ababadde ku kabaga k’abaana akabadde mu kisaawe e Kanyanya ekiri ku njegooyego za Kampala,  Sserunjogi agambye nti abantu bano abali mu bbizinensi tebafaayo kuddako eri abantu ate nga beebayimirizaawo bizinensi zaabwe.