Breaking
News: Okwewandiisa mu Ngule kwaguddwawo e Bukoto ku Simba ate kwabwereere. News: IGG agudde emisango ku Chris Obore ne banne abalala 6 era nasaba basindikubwe mu Kkooti Enkulu bavunaanibwe emisango egyekuusa ku bukenuzi News: Awali Omukka-Ssewandagi-Balaam okuswaza Nameere Omuganda ogenderera ki? Obikola eno ate e Bunyoro?
ON NOW Binsangawano ▶ UP NEXT Simba Taxi 10:00 AM - 1:00 PM
Now Playing ยท 724 listening Simba FM Live
binsangawano show photo

On Air

Binsangawano

Ndausi - Julius Kidomole - Mbabali

Morning show 6:00 AM - 10:00 AM

AMAGYE AGALAWUNA ENNYANJA NALUBAALE GASUSSE OBUKAMBWE

May 18, 2017 · Mubiru Ali

Omubaka wa Mukono South mu palamenti Johnson Muyanja Ssenyonga asabye amagye agakwasibwa omulimu gw’okulawuna ennyanja Nalubaale okukendeeza obukambwe bwagamba nti buviiriddeko abantu okufiira mu nnyanja.

Bino webigidde nga waliwo abantu abagambibwa nti bagudde mu nnyanja oluvanyuma lwokutiisibwa abalawunyi abali ku muyiggo ggwa bantu abenyigira mu nvuba emenya amateeka.

Muyanja agamba nti abasirikale basaanye okwawula amaato agasaabaza abantu kwago agabavubi kitangire obuzibu bw’obubenje ku nnyanja olwokutya.