Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule obudde buggwaayo yanguwako ku simba e Bukoto oleme kusubwa. News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba!
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing ยท 399 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

Amagombolola gakiise embuga

May 22, 2019 · Mubiru Ali

#Luwalo Lwaffe
Amagombolola okuli; Kakiri ,Ssaabagabo Nsangi ,Mumyuka Wakiso, Mutuba 3 Namayumba (Busiro), ne Nangabo (Kyaddondo), gakiise embuga mu nkola ya Luwalo Lwaffe negagula satifikeeti za bukadde obusobye mu 50. Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga yabatikkudde. Bano babadde bakulembeddwamu abaami ba Kabaka abatwala e gombolola ezogeddwako waggulu.

Bweyabadde abatikkula, Katikkiro yategeezezza nti buvunaanyizibwa bwa buli muntu okulaba nga Buganda edda ku ntikko era nga assaako ettoffaali lyasobodde.

Mu ngeri yeemu, Katikkiro yatongozza omwoleso gwebyobulambuzi mu Buganda.
Omwoleeso guno gugendereddwamu okutumbula ebyobulambuzi mu bifo eby’enkizo mu Buganda okusobola okujjamu ensimbi.
Omwoleso teguli kubyabulambuzi byokka,wabula n’eby’obulimi, obutale, n’obwegassi. Ebika ebyenjawulo nabyo byakwolesa ebintu byabwe eby’enkizo.

Mu ngeri yeemu Katikkiro yatongozza oluyimba lw’ekitiibwa kya Buganda ku lubaawo, olunaatwalibwanga ku buko.