Breaking
News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya twolekedde Akaseerezi era ku nnya ekiro lindirira enkabikkabi zabakontanyi nendukusa zaabwe nga News: Enkuba ekedde okutonnya etaataganyizza omulimu gwokutambuza ebigezo bya Siniya eyookuna. News: Hon. Zambaali Bulasio Mukasa
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing ยท 300 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

Amabaati saagasaba naye Minisita yeyangamba ngasabe – Rt. Hon. Kadaga

April 13, 2023 · Mubiru Ali
Omumyuuka wa Ssaabaminisita asooka era Minisita avunaanyizibwa ku nsonga za Karamoja Rt Hon Rebecca Alitwala Kadaga avuddeyo nategeeza akakiiko akavunaanyizibwa ku nsonga za Pulezidenti nti Minisita avunaanyizibwa ku nsonga za Karamoja Dr. Gorreti Kitutu Kimono yamutuukirira bwebaali mu Lukiiko lwa Baminisita namusaba okuteekamu okusaba kwe eri offiisi ye ngasaba amaabati. Kadaga ayongeddeko nti yagoberera bulungi ebirina okuyitwamu okugasaba.
Ono ayongeddeko nti mu kaseera ako waliwo obwetaavu obwamangu mu kitundu kyakiikirira.
Kadaga era ategeezezza nti teyamanya nti amabaati gano gaali gagibwa ku g’e Karamoja nti era amabaati agamuweebwa 500 akyagalina, bwebamubuuzizza nti anagazza nategeeza nti ajja kusasula nsimbi nkalu mu mabaati gano kuba essomero n’eddwaliro ebyayonoonebwa byeyambisibwa Bannayuganda.