Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule obudde buggwaayo yanguwako ku simba e Bukoto oleme kusubwa. News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba!
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing ยท 367 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

Alowoozebwa okutta Magala aziddwa

May 16, 2019 · Mubiru Ali

Poliisi ya South Africa nga ekolera wamu ne offiisi ya Poliisi y’ensi yonna mu kibuga Pretoria olunaku lw’eggulo yawaddeyo Munnayuganda Patrick Kasaija aka Patrick Agaba Pato eri ab’obuyinza mu Yuganda.
Ono avunaanibwa omusango gw’otemula Suzan Magara. Ekitongole ekiramuzi mu Yuganda kye kyawandiikira Poliisi y’ensi yonna ekiyambe ekwate Pato eyali asuubirwa okubeera mu kibuga Johannesburg, e Gauteng.
Pato yakwatibwa e South Africa mu maka ge e Midrand nga 7-March-2018 aba Poliisi y’ensi yonna nga bali wamu n’aba National Investigation Unit nasimbibwa mu kkooti e Randburg.
Minisita w’ensonga za Ssemateeka wamu n’ebyekiramuzi Michael Masutha ye yawadde ekiragiro ono azibbwe ku butaka mu Yuganda avunaanibwe.