Breaking
News: Omulamuzi wa Kkooti Enkulu Alex Ajiiji abadde mu mitambo gyOmusango gwabatta Suzan Magara avuddeyo nasiima Ssaabaduumizi wa Uganda Police Force News: Kkooti Enkulu mu Kampala esalidde Hajarah Nakandi ne Buwembo Musa aka Abas ekibonerezo kyakuttibwa lwakuwamba ne batta Susan Magara 28. Abantu News: Olunaku olwaleero Ababaka ba Palamenti abatuula ku Kakiiko ka Palamenti akavunaanyizibwa ku byokwerinda bakunyizza abakungu okuva mu bitongole bya
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing ยท 463 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM
News

Alipoota eno mugiwe Bannayuganda bamanye obulimba bwa NUP – Minisita Muhoozi

November 29, 2023 · Mubiru Ali
Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku nsonga zomunda mu Ggwanga Gen. David Muhoozi ategeezezza Palamenti nti okunoonyereza ku misango 30 egyawabibwa aba National Unity Platform – NUP mu Uganda Human Rights Commission – UHRC era okunoonyereza kulaga nti waliwo ebibuuzo bingi ku kwemulugunya kwa Opposition.
Ono agama nti abawagizi abo aboogerwako tebakolaganye bulungi nabanoonyereza oba obujulizi bwabwe buzze bukyuukakyuuka okuviira ddala kwobwo bwebawaayo mu UHRC.
Minisita afuqdikidde asaba Akakiiko ka Palamenti akavunaanyizibwa ku ddembe lyobuntu okufulumya alipoota eno ku bantu NUP begamba okubuzibwawo eri Bannayuganda bagisome.
Akulira Oludda oluwabula Gavumenti Mathias Mpuuga Nsamba asuubizza okwanukula alipoota ya Minisita nga 5-December, 2023.