Breaking
News: Anaggulangawo ebbaala nga ssaawa mwenda ezolweggulo tezinnawera kanamujjuutuka – Minisita Balaam News: Okwewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. News: Hon. Emmanuel Rwashande Munnakibiina ki National Resistance Movement
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing · 211 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM

Ali mu maziga lwa mwana we ow’olunaku olumu okubbibwa ku ddwaliro – Jinja

July 6, 2017 · Mubiru Ali

Namukose Jennipher ow’emyaka 20 nga mutuuze ku luguudo lwa Obojja mu kibuga Jinja akulukusa maziga ku ddwaliro lya Gavumenti e Jinja lwa mwana we ow’olunaku olumu gw’abadde yaakazala okubbibwa.

Omusasi waffe oluuyi olwo Rogers Kiduma  bw’atuuse ku Namukose abadde akaaba aga jululu amutegeezezza nti baamukwata bukwasi okufuna olubuto lw’omwana oyo abbiddwa era n’asaba okuyambibwa mu ngeri yonna esoboka afune omwana we .

Wabula babadde bakyali ku oyo ate n’ewamatukayo omukazi Zaina Magomu ow’emyaka 27 nga naye abanja omwana we eyabula ku ddwaliro lino lyalimu  mu mwezi gwokubiri .