Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule tukulinze wano e Bukoto ku Simba ennaku zonna. News: Eggwanga lyabantu eritawena, omusajja yenna okuwasaayo omukazi alina kutwalayo musota singa gumulema okuwaayo omukazi aba amusubiddwa. News: Gasimbagane-Rwomushana-Ku mwenge Balaam atuuse wayabikira, byakola biweddeyo. Express way saga…..
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing · 223 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM

al-bashir bamuli bubi

December 29, 2018 · Mubiru Ali

Nga gwe mulundi ogusoose mu myaka egikunukkiriza mu 30, Gen. Omar al-Bashir gye yaakafugira Sudan, amagye g’abadde asinga okwesiga gamujeemedde, bwe gategeezezza nti bo kikafuuwe okukozesa eryanyi ku beekalakaasa.
Omuduumizi w’amagye agambye nti, “Ffenna Sudan yaffe. Ekikulu Pulezidenti kutereeza byanfuna kubanga bitunyigira wamu. Okukozesa eryanyi ku beekalakaasa tekijja kuyamba. Amagye tegajja kweyingiza mu bya kukkakkanya kwekalakaasa.”
Kyokka wadde amagye geeyamye obutakozesa lyanyi, yo poliisi ekyagenda mu maaso n’okukuba amasasi n’omukka ogubalagala mu beekalakaasi abamaze okusasaana mu bibuga kati 28.
Okwekalakaasa kwatandise December 19, oluvannyuma lw’ebbeeyi y’amafuta, eŋŋaano n’emigaati okulinnya n’ekubisibwamu emirundi ebiri. Mu Sudan basinga kulya migaati n’emmere ekolebwa mu ŋŋaano nga chapati n’amandaazi.