Breaking
News: Eggwanga lyabantu eritawena, omusajja yenna okuwasaayo omukazi alina kutwalayo musota singa gumulema okuwaayo omukazi aba amusubiddwa. News: Gasimbagane-Rwomushana-Ku mwenge Balaam atuuse wayabikira, byakola biweddeyo. Express way saga….. News: Ba Directors, Management nAbakozi ba Radio Simba tutuusa okusaasira kwaffe eri abenju ya Alex Mukulu atuvudde ku maaso.
ON NOW Mukulikeeyo ▶ UP NEXT Emboozi Kafunda Live 6:00 PM - 7:00 PM
Now Playing ยท 277 listening Simba FM Live
mukulikeeyo show photo

On Air

Mukulikeeyo

Kasagazi Tumbeetu - Flosh

Evening show 4:00 PM - 6:00 PM

Akwatiddwa lwakugezaako kutta muntu

October 22, 2018 · Mubiru Ali

Poliisi ekutte Bosco Eyoko 25, nga mukuumi w’ekitongole eky’obwannannyini ekya KPI Security Services Limited akwatiddwa Poliisi y’e Katwe lwakukuba mukuumi munne Judith Ayugi amasasi bweyali akuuma Baki Auto Dealers mu Ndeeba.

Oluvannyuma lw’okuzza omusango nga 10-Oct, Eyoko yasulaawo emmundu ye nadduka nga abadde yekweka. Judith yaddusibwa e Mulago nga eggumba ery’okukisambi limenyesemenyese olw’essasi. Eyoko yakkirizza okukuba Judith essasi nga agamba nti emmundu ye yaliko obuzibu era yali tagenderedde kumukuba.

Poliisi yakizudde nti Judith 24, yali yakafuna omulimu gw’obukuumi mu kkampuni ya KPI ku nga 10-Oct. Ye Bosco akuumirwa ku Poliisi y’e Mukono nga bwalindirira okusimbibwa mu kkooti abitebye.