Breaking
News: Tubaagaliza olunaku lwamefuga olulungi. News: Omugga Ssezibwa mulongo, gwazaalibwa nomugga omulala, Mugga ki ogwo? Omukontanyi kimukanudde amaaso News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya ebyayo tebiggwaayo etinta butinsi ne Leero ekiro girindirire ku nnya.
ON NOW Tokammalirawo ▶ UP NEXT Mukulikeeyo 4:00 PM - 6:00 PM
Now Playing ยท 299 listening Simba FM Live
tokammalirawo show photo

On Air

Tokammalirawo

Sureman Segawa

2:00 PM - 4:00 PM 2:00 PM - 4:00 PM
News

Akwatidde ekibiina ki National Unity Platform bendera ku…

November 22, 2025 · Radio Simba

Akwatidde ekibiina ki National Unity Platform bendera ku kifo ky’obwa Pulezidenti, Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine bweyabadde e Koboko olunaku lweggulo abaayo yabasuubiza nti singa banamulonde wakulwana okulaba nti atereeza enkolagana ya Uganda n’Ensi endala okusobola okutumbula ebyensubulagana. Ono era yabategeezezza nti byebakola olwaleero tebiyamba bbo bokka nti wabula n’abaana baabwe era n’okubawa ekifaananyi nti ddala kisoboka.
Yabasuubizza okuzimba ebibuga mu buli ttunduttundu lya Ggwanga wamu n’ebisaawe by’ennyonyi, okuzimba enguudo eziri ku mulembe wamu n’okuzzaawo eggaali y’omukka gyebafuma obufumi.
Ono yabagumizza nti enkyuukakyuuka ejja essaawa yonna eri Uganda yakubeera n’abakulembeze abato.
#ffemmwemmweffe
#UgandaDecides2026
#AnewUgandaNow
#protestvoteug
#protestvote2026