Breaking
News: Okwewandiisa mu Ngule kugenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. Yanguwako tukulinze. News: Hon. Amelia Kyambadde atabukidde eyali Omubaka Hon. News: OLUTINDO-Hon. Ssekitooleko-Omusolo gwowa olina gulabira Mulago mu Ddwaliro! Omusolo gususse gulagawa
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing ยท 352 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

Akulira oludda oluvuganya Gavumenti naye azzizzaayo obukadde 29

November 2, 2017 · Mubiru Ali

Akulira oludda oluvuganya Gavumenti era omubaka omukyala owa Disitulikiti y'e Kasese wamu n'omumyuka we Roland Mugume akiikirira Munisipaali y'e Rukungiri mu Palamenti nabo bazzizzaayo obukadde 29 buli omu .

Bw'abadde ayogerako n'abamawulire ku Palamementi enkya ya leero, Kiiza ategeezezza nti ye Memba ku kakiiko ka Palamenti ak'ebyensimbi nga ssente ezo zaalina okusooka okukakasibwa akakiiko kano ekintu ekitaakolebwa nabwekityo teziri mu mateeka kubanga ababaka baaweebwa ssente z'okwebuuza ku balonzi ez'omwezi gw'ekkumi nabwekityo ensimbi ezo obukadde 29 za kugulirira babaka mu Palamenti basobole okuwagira ekintu kya Pulezidenti Museveni eky'okuggya ekkomo ku myaka .