Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule yanguwako ngobudde bukyaliyo tukulinze wano ku simba e Bukoto okiikirire ekika kyo News: Nekigendererwa ekyokukendeeza obubenje ku nguudo, Uganda Police Force evunaanyuzibwa ku bidduka ngeri wamu nabakungu okuva mu Minisitule News: Luggya Bossa Tabula ne kizibwe we Luggya Noah bakirizza omusango gwokutta eyali akulira ekika kyEndiga Lwomwa omubuze Eng. Kakeedo Bbosa Luggya mu
ON NOW Simba Taxi ▶ UP NEXT Ebyemizannyo 1:00 PM - 2:00 PM
Now Playing · 430 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Taxi

Connie Nalugwa

Mid MORNING SHOW 10:00 AM - 1:00 PM

Akulira eby’okulonda e Rukungiri akyusiddwa

April 23, 2018 · Mubiru Ali

Akakiiko k’eby’okulonda mu ggwanga kakyusizza abadde akulira eby’okulonda mu Disitulikiti y’e Rukungiri Pius Ahimbisibwe mu kaseera nga boolekera okalulu k’okujjuza ekifo ky’omubaka omukyala mu Palamenti  owa Disitulikiti eno okugenda okubaayo mu mwezi ogujja.

Ahimbisibwe yeyali mu mitambo gy’okulonda kw’omwaka 2016 era nga amuddidde mu bigere ye Umar Kiyimba era nga kino kizze nga ebula ssabbiiti bbiri zokka ab’e Rukungiri bakube akalulu.

Ekifo kino kyasigala kikalu oluvannyuma lwa kkooti ejulirwamu okusazaamu okulondwebwa kwa Winnifred Komuhangi Matsiko owa NRM oluvannyuma lwa mumna FDC Betty Muzamira okwekubira enduulu mu kkooti ng’agamba nti okulonda kuno kwetobekamu vvulugu atagambika.

Kiyimba ayanjuddwa Ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda Simon Byabakama enkya ya leero .