Breaking
News: Okwewandiisa mu Ngule kugenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. Yanguwako tukulinze. News: Hon. Amelia Kyambadde atabukidde eyali Omubaka Hon. News: OLUTINDO-Hon. Ssekitooleko-Omusolo gwowa olina gulabira Mulago mu Ddwaliro! Omusolo gususse gulagawa
ON NOW Binsangawano ▶ UP NEXT Simba Taxi 10:00 AM - 1:00 PM
Now Playing ยท 1,054 listening Simba FM Live
binsangawano show photo

On Air

Binsangawano

Ndausi - Julius Kidomole - Mbabali

Morning show 6:00 AM - 10:00 AM

Akubye mukazi we omusekuzo n’amutta lwa kifi kya nnyama – Mubende

December 27, 2017 · Mubiru Ali

Ekifi ky’ennyama ya Ssekukkulu kitabudde abafumbo omu n’akuba munne omusekuzo ku mutwe n’amutta.  – Mubende

Muhawimana Donadatia ow’emyaka  32 y’akubiddwa bba Nahweza Benard myaka  34  omusekuzo ku mutwe ogumugye mu budde era nga enjega eno egudde ku kyalo Kyakadaali ekisangibwa mu ggombolola y’e Kitenga mu Disitulikiti y’e Mubende.

Nahweza Benard ategeezezza Police, nti yaguzze bulungi ennyama ye eya Ssekululu n’alondamu ekifi kye naye ekimujje mu mbeera kwe kulaba nga ate omukyala kyeyalidde era bw’amubuuzizza ensonga eyamuliisizza ekifi kye ate azze mu kumuvuma olw’obusungu kwe kukwata omusekuzo n’agumukuba. 

Aduumira Police e Mubende, Magoola Charles ategeezezza nti omulambo gwa Muhawimana guleeteddwa mu ddwaliro e Mubende okwekebejjebwa wabula ye Nahweza Benard emikono gyazze dda gyegitaliira ntungo.