Akubye mukazi we akakumbi n’amuttirawo – Buvuma

Pinterest LinkedIn Tumblr +

Ekikangabwa kibuutikidde abatuuze mu ttawuni kkanso y’e Buvuma ekisangibwa mu Disitulikiti y’e Buvuma, omusajja Sam Wanyange ow’emyaka 35 bw’akubye mukazi we Miria Mbeiza ow’emyaka 30 akakumbi n’amuttirawo.

Abeerabiddeko n’agaabwe bagamba nti baawulidde oluyombo wakati w’abafumbo bano ekiro ekikeesezza olwaleero nebalowooza nti lukomye awo, wabula kibabuuseeko bwebagenze okulaba nga Wanyange yasse mukyala we era n’amalamu omusulo nga omulambo yagulese mu nju n’abaana babiri, ow’emyaka 3 ne 6 . ┬áKitalo !

Share.

Leave A Reply