Breaking
News: Anaggulangawo ebbaala nga ssaawa mwenda ezolweggulo tezinnawera kanamujjuutuka – Minisita Balaam News: Okwewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. News: Hon. Emmanuel Rwashande Munnakibiina ki National Resistance Movement
ON NOW Mukulikeeyo ▶ UP NEXT Emboozi Kafunda Live 6:00 PM - 7:00 PM
Now Playing ยท 262 listening Simba FM Live
mukulikeeyo show photo

On Air

Mukulikeeyo

Kasagazi Tumbeetu - Flosh

Evening show 4:00 PM - 6:00 PM

Akubye kitaawe amatoffaali agamuttiddewo – Kyamuliibwa

June 13, 2017 · Mubiru Ali
Ekikangabwa kibuutikidde abatuuze mu ggombolola y’e Kyamuliibwa ekisangibwa mu Disitulikiti y’e Kalungu olwaleero, omusajja bwakkidde kitaawe n’amukuba amatoffaali agamuttiddewo.
Omusajja ono nga ye John Ssempanga akkidde kitaawe Leonald Kalegeya n’amukuba ettaffaali ku mutwe ate naye ne yeggya mu bulamu bwensi eno. Kitaawe wa Ssempanga abadde agezaako okutaawulula enkaayana wakati wa Ssempanga ne mukyalawe ekintu ekitamusanyusizza era bwatyo n’ayambalagana ne kitaawe Okukkakkana nga amumizizza omusu ate naye neyeetugisa akatimba k’ensiri.
Omwogezi wa Police mu kitundu kino Lameck Kigozi akakasizza bino.