Breaking
News: Bwoba tewalangirirwa nga muwanguzi kizibu okuwangula omusango. Bannamateeka bali ku mulyo – Baguma News: Eyali akulira ebyokulonda e Mukono Emilly Amongin eyekyuusiza mu kiti nga embazzi bweyasooka kulangilira Jonhson Muyanja Ssenyonga owa National Unity Platform ngomuwanguzi ku bwa Ssentebe bwa Disitulikiti e Mukono ate oluvannyuma nalangilira Francis Lukooya Mukooma owa National Resistance Movement News: Munnakibiina ki National Resistance Movement
ON NOW Tokammalirawo ▶ UP NEXT Mukulikeeyo 4:00 PM - 6:00 PM
Now Playing · 219 listening Simba FM Live
tokammalirawo show photo

On Air

Tokammalirawo

Sureman Segawa

2:00 PM - 4:00 PM 2:00 PM - 4:00 PM
News

Akayimba ka Bobi Wine aka Carolina kwenakulira – Shakirah Nakalema

May 30, 2023 · Mubiru Ali
Shakirah Nakalema 27, nga musuubuzi, mukulembeze mu Elle Parle Women’s Association era nga mubazi wa bitabo ng’ono era yali emabega w’empaka za ‘women’s debate championships’, yazaalibwa mu maka g’omwami Badru Kateregga ne Hawa Nabweteme bano ng’eddiini y’Obuyisiraamu baali bagitwalira ddala nga ekikulu awaka.
Ono agamba nti yali mwana wabonna nti era buli wa luganda lwe alina omukono mu kukuzibwa kwe. Ono agamba nti yadde awaka baaliwo abaana bangi, naye bazadde be bawagira nga nnyo ebirowoozo bye.
Ettanda gyatalyerabira Maama we Nabweteme gye yamusibirira agamba nti yamukwasa oluyimba lwa Bobi Wine #Carolina, nga amujjukiza okunywerera ku bitabo n’obutalabankana n’abalenzi kuba yali ayinza okufundikirira nga Carolina gwebafunyisa olubuto nasubwa okusoma.
Abaffe ensangi zino singa obadde wakusibirira mwana wo ntanda, luyimbi ki lwosuubira oluyinza okuba nga lwefutiseemu obubaka bwoyagala okuwa omwana wo?
Story Credit: The Observer