Breaking
News: Gaagano amawanga gabantu nga go gasinga kwagala basajja baavu okuwasa bawala baabwe kuba abasajja abaavu balina kye babafunamu ekinene ennyo. News: Gasimbagane-Rwomushana-Buli yegaanye nti tamanyi Muwanga gyali Kati yavuddewa? Yeyetutte ku Poliisi? News: Ku Mutoto Cultural Centre batongozza okusala Imbalu omwaka guno nga kino kyakukolebwa okutuusa December.
▶ UP NEXT Lutaba Njaliire 4:00 PM - 8:00 PM
Now Playing ยท 186 listening Simba FM Live

Akakiiko k’ebyokulonda kaakusisinkana abaggyayo empapula zokuvuganya ku bwa Pulezidenti.

September 14, 2015 · Mubiru Ali

Enkya ya leero akakiiko akakulira ebyokulonda mu ggwanga kaakusisinkana abo bonna abaggyayo empapula zokuvuganya ku kifo ky’obululembeze bw’eggwanga mu kalulu ka 2016.

Akakiiko kaagala okwogiwaza abantu bano ku by’okulonda, okulunngamya naabo abakuba enkungaana ย z’okwebuuza ku balonzi ate nga baalinga abakuba kampeyini.

Omwogezi w’akakiiko kano Joshua Mutalemwa agamba nti abaakagyayo empapula baweze 43 era oluggi lukyali luggule eri abaagala okunona empapula.