Breaking
News: Aneewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso buli lunaku e Bukoto ku Simba. News: Abantu 4 abagambibwa okutta eyali omuduumizi wa Kkiraabu ya SC Villa David Owor, baleeteddwa ku Kkooti yOmulamuzi we Makindye okusomerwa emisango News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu!
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing ยท 776 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM

Akakiiko ka Palamenti kasudde Byabashaija

April 6, 2020 · Mubiru Ali

Akakiiko ka Palamenti akasunsula ababa balondeddwa Pulezidenti aka Parliament Appointments Committee akabadde kakubirizibwa Sipiika Rt Hon Rebecca Alitwala Kadaga kagaanyi okuzza obuggya kontulakita ya Commissioner General wa Uganda Prisons Service -UPS Dr. Johnson Byabashaija.
Okusinziira ku nsonda ezesigika ezibadde mu kafubo akatakiriziddwamu b’amawulire, Bammemba ku Kakiiko bagaanyi Byabashaija lwa myaka.
Byabashaija nga kati alina emyaka 62, abatasobola kulondebwa mu kifo kino kuba okusinziira ku Public Service Omukozi wa Gavumenti alina okulondebwa mu kifo ekyekikula ekyo alina kubeera nga tasukka myaka 60.
Wabula eky’emyaka Byabashaija akiwakanyizza bwabadde ayogerako ne Bannamawulire nga agamba nti ye yawummula okubeera omukozi wa Gavumenti mu 2005 nga okuva olwo abadde akolera ku kontulakiti ebadde ezibwa obuggya Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni.
N’omumyuka we James Mwanje naye asuuliddwa wamu ne Leadership code Tribunal Chairperson, Irene Segawa Karugonjo.