Akakiiko ka palamenti akavunaanyizibwa ku ddembe ly’obuntu kakunyizza IGP Martins Okoth Ochola ne Minisita Obiga kuby’okutta n’okuwamba abantu mu ggwanga.

Minisita omubeezi ow’ensonga ez’omunda mu ggwanga Mario Obiga Kania wamu ne IGP Martins Okoth-Ochola basanze akaseera akazibu okunnyonyola kukuwambibwa wamu n’okuttibwa kw’abantu okusasanidde eggwanga.

Bano wamu n’abakulu mu poliisi abawerako babadde balabiseeko mu kakiiko ka palamenti akavunaanyizibwa ku ddembe ly’obuntu nga kakulemberwa Hon. Safia Nalule (NRM-PWDs).

Ababaka basabye Minisita ne IGP okunnyonyola lwaki okuwamba wamu n’okutta abantu kwali kugenda mu maaso nga mpaawo kikolebwa okulaba nti kikoma wabula bano nebasaba baweebweyo akadde basooke begeyeemu kukyokuddamu.

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

More Stories
Omwana adduse kubamuwambye