Breaking
News: Aneewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso buli lunaku e Bukoto ku Simba. News: Abantu 4 abagambibwa okutta eyali omuduumizi wa Kkiraabu ya SC Villa David Owor, baleeteddwa ku Kkooti yOmulamuzi we Makindye okusomerwa emisango News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu!
▶ UP NEXT Wolokoso 9:00 AM - 10:00 AM
Now Playing ยท 157 listening Simba FM Live

Akakiiko ka COVID-19 akasaka kanoonya obuwumbi 170

May 18, 2020 · Mubiru Ali

Olukiiko olukola ogw’okusaka olwa National Response Fund mu kulwanyisa ekirwadde kya Covid-19 lugamba nti luluubirira okukungaanya obuwumbi 170 n’emotoka 10 ku buli Disitulikiti. Enkola mwebasuubira okuyita mwemuli okutuukirira ba CEO bamakkampuni basabe abakozi baabwe baweeyo ku nsimbi ez’omusaala gwabwe lwakiri 10,000/= ku mwezi gwa May ne June nga baluubirira okufunamu obuwumbi 30.
Olukiiko era lutuukirira abagabirizi b’obuyambi wamu n’emikwano gya Yuganda giduukirire eggwanga mu kiseera kino nga kirwadde kya #COVID-19 nga kigoya ensi yonna.
Akakiiko kagamba nti werwatukidde nga 14-May-2020 nga bakungaanyizza obuwumbi 28 mu mpeke n’ebintu.