Breaking
News: Munnamateeka Kenneth Paul Kakande ……..Hon. News: Oyo yenna aneetaba mu Ngule tosigalira, jangu nendukusa yo e Bukoto ku Simba mwewandiise. News: Luggya Bossa Tabula amaziga gamuyiseemu oluvannyuma lwomulamuzi okubasingisa omusango ye ne kizibwe we Luggya Noah omusango gwokutta eyali Omukulu
ON NOW Simba Sports ▶ UP NEXT Ekiggunda 8:00 PM - 12:00 AM
Now Playing · 199 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Sports

Commentary Team

2:00 PM - 8:00 PM 2:00 PM - 8:00 PM

Akakiiko akanoonyereza ku mivuyo gy’ettaka kayimiriza okusasula obuwumbi 11

June 28, 2018 · Mubiru Ali

Akakiiko k’omulamuzi Catherine Bamugemereire akateekebwawo okunoonyereza ku mivuyo gy’ettaka mu ggwanga kavuddeyo nekayimiriza okusasula obuwumbi 11 nga zibadde zakuliyirira bananyini ttaka awagenda okuzimbibwa ebbibiro lya masanyalaze eya Isimba Hydro-Power mu District ye Kayunga.

Ssentebe w’akakiiko akalabirira emirimu gy’okuzimba amabibiro ga Karuma ne Isimba Eng. Badru Kiggundu yavuddeyo neyemulugunya nti abantu abagamba nti babanja basasulwa dda Gavumenti wabula nebasaba ssente endala obuwumbi 600 bubawebwe olw’amayinja agali mu bifo bino.

Omulamuzi Bamugemereire yawandiikidde Omuwandiisi omukulu mu Minisitule y’ebyensimbi nga amulagira obutasasula ssente ezo olw’ensonga ezirina okumalirizibwa.