Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule yanguwako ngobudde bukyaliyo tukulinze wano ku simba e Bukoto okiikirire ekika kyo News: Nekigendererwa ekyokukendeeza obubenje ku nguudo, Uganda Police Force evunaanyuzibwa ku bidduka ngeri wamu nabakungu okuva mu Minisitule News: Luggya Bossa Tabula ne kizibwe we Luggya Noah bakirizza omusango gwokutta eyali akulira ekika kyEndiga Lwomwa omubuze Eng. Kakeedo Bbosa Luggya mu
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing ยท 251 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM

Akabenje katuze omukazi ku luguudo lw’e Bombo

February 22, 2018 · Mubiru Ali

Waliwo omukazi atategeerekese mannya ge naye nga atemera mu gy'obukulu ana (40) atomeddwa emmotoka ebadde ewenyuka obuweewo n'afiirawo ku kyalo Kiryowa ekisangibwa ku luguudo oluva e Kampala okudda e Bombo – Nakasongola . 

Abeerabidde n'agaabwe ng'akabenje kano kagwawo bagamba nti kavudde ku kuvugisa kimama omugoba w'e mmotoka  bwemulemeredde n'atomera omukazi okukkakkana nga z'embuyaga ezikaza engoye.

Aduumira Police mu kitundu kino, Mongasha atutegeezezza nti omugoba wa mmotoka eno agombeddwamu obwala era ali mu mikono gya Police ate gwo omulambo gw'omukazi gutwaliddwa mu ggwanika bongere okugwekebejja.