Breaking
News: Nekigendererwa ekyokukendeeza obubenje ku nguudo, Uganda Police Force evunaanyuzibwa ku bidduka ngeri wamu nabakungu okuva mu Minisitule News: Luggya Bossa Tabula ne kizibwe we Luggya Noah bakirizza omusango gwokutta eyali akulira ekika kyEndiga Lwomwa omubuze Eng. Kakeedo Bbosa Luggya mu News: Awali Omukka-Ssewandagi-Muhanga ayagala baggyewo ettaka lya Mayiro mu Buganda nga awalala balirina?
ON NOW Ebyemizannyo ▶ UP NEXT Tokammalirawo 2:00 PM - 4:00 PM
Now Playing ยท 1,204 listening Simba FM Live
ebyemizannyo show photo

On Air

Ebyemizannyo

Bruce Omutabizi

1:00 PM - 2:00 PM 1:00 PM - 2:00 PM

Akabenje katuze bana e Mubende

January 20, 2018 · Mubiru Ali

Abantu 4 bafiridde mu kabenje e Katosi mu ggombolola ye Kiganda e Mubende.

Abagenzi kwa kategeerekekako Mugume Jackson era nga ono y'abadde omugoba w'e mmotoka y' ekika kya Harrier etomedde Kkosita  ku kyalo Katosi mu gombolola ye Kiganda e Mubende.

Mugume Jackson mu motoka eye kika kya Harrier abaddemu n'abantu abalala abakulu babiri okuli omukyala no omwami abatemera mu myaka 25 – 30 kw'ogatta n'o mwana omulenzi ali wakati we myaka 6-8.

Aduumira police e Mubende Magoola Charles ategezeezezeza nti akabenje kano kavudde ku motoka ye kika kya Harrier number UAM 460M ebadde eva e Mubende nga edda e Kampala nga edduka ku misinde  emingi ennyo okulemererwa omugoba waayo n'eyingirira Kkosita  nnamba UAW 790B ebadde eva e Kampala nga edda e Kamwenge.

Police e Mubende emirambo egigyeeyo n'egitwala mu ggwanika ly'e ggwanika lye –  Mubende regional referral hospital na babiri abalumiziddwa nga ababadde mu costa batwaliddwa mu ddwaliro lya Kiganda health centre iv okufuna obujanjabi.