Breaking
News: Yiino kkampuni ekoze tisaati ngomuntu ogyambalira omwezi gumu nga tagyozezza. News: Gasimbagane-Rwomushana-UPDF okugenda e Gaza tugenda mu bulabe. Ente okufa obutwa, Govt eriwa? News: OLUTINDO-Mukose-Enaku eri mu basement, waliwo abalina ebituli mu magulu nga babayisaamu drill
ON NOW Ebifudde mu wiiki ▶ UP NEXT Lutaba Njaliire 4:00 PM - 8:00 PM
Now Playing ยท 441 listening Simba FM Live

On Air

Ebifudde mu wiiki

News Team

9:00 AM - 12:00 PM 9:00 AM - 12:00 PM

Akabenje kasse 3, kkumi bataawa – Northern By- pass

August 29, 2016 · Mubiru Ali

Abantu basatu bakakasiddwa nti bafiiriddewo mbulaga ate abalala abawerako abasoba mu kkumi ne baddusibwa mu ddwaliro e Mulago nga biwala ttaka oluvannyuma lw’okugwa ku kabenje enkya ya leero okuliraana Busega ku luguudo mwasanjala olwa Northern By-pass mu Kampala.

Omusasi waffe abaddewo ne yeerabirako n’agage agamba nti Omugoba wa mmotoka ya Gavumenti Double Cabin nnamba LG 00 2018 y’aviiriddeko akabenje kubanga abadde ayisa emmotoka eziwerako ng’adda Bwayiise n’ayambalagana n’eyamanda ebadde edda e Busega awo enkalu ne zinoonya obukongovule era okukkakkana nga bakkiridde ewa Ssenkaaba.

Kigambibwa nti omugoba wa Double Cabin abadde yeesiye amagengere sinakindi n’abalala ababadde mu mmotoka eno bwebabadde olw’amacupa g’omwenge agasingaanidwa mu mmotoka yaabwe.

Abafudde tebannategeerekeka bibakwatako. Kitalo.