Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule obudde buggwaayo yanguwako ku simba e Bukoto oleme kusubwa. News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba!
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing ยท 495 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

Aidah Nantaba yeebazizza Mukama okumutaasa abatemu

May 19, 2019 · Mubiru Ali

Hon. Aidah Nantaba Erios, Omubeezi wa Minisita owa ICT era nga ye Mubaka omukyala owa Disitulikiti y’e Kayunga olunaku lw’eggulo yategese okusaba okwebaza Mukama okumutaasa abatemu. Okusaba kuno kwabadde ku Kkanisa ya Seventh Day Adventist e Bukolooto mu Kayunga Town Council nga kwakulembeddwamu Omusumba Dr. Moses Makka okuva mu Bugema University. Omusumba Dr Moses Makka, Hon. Aidah Nantaba yamugerageranyiza ku kavubuka ka Daudi akasobola okumegga esajja eryaali eramaanyi enyo li Golius.
Yagambye nti abantu bangi Katonda bakolera ebinene kyokka nebatafaayo ku mwebaza. Ye Hon. Nantaba yanenyezza Poliisi olw’okutta Ssebulime nga ate singa bamukwata yali agyakwatuukiriza abantu abaali mu lukwe olwo.
Yagambye nti tewali muntu mulala yenna gwakiteekako okujjako Poliisi yennyini nebanywaanyi baayo.