Agambibwa okuwebuula Sipiika asindikiddwa e Luzira

Pinterest LinkedIn Tumblr +
Ssentamu Jn aka John Kelton nga gemannya gakozesa ku mukutu gwa twitter eyakwatibwa abebyokwerinda omwezi oguwedde olw’ebyo byeyawandiika ku Sipiika wa Palamenti bweyali mu Vatican aleeteddwa mu Kkooti ya Buganda Road enkya yaleero okuwulira okusaba kwe okwokweyimirirwa.
Ono omulamuzi agaanye okusaba kwe namusindika ku alimanda e Luzira okutuusa nga 18-10-2022 oluvannyuma lwomuwaabi wa Gavumenti okulemererwa okuleeta fayiro ye.
Share.

Leave A Reply