agambibwa okuvuga grader eyakiikibwa muluseregende lwe motoka za pulezidenti bamukutte

Wabaddewo katemba atali musasulire ku Kkooti e Gulu abasirikale ba Poliisi bwebabadde bakwata Musa Ssenyange Poliisi gwelowooza nti yeyavuga ekimotoka kiwetiiye ekyakozesebwa mukuziyiza oluseregende lw’emotoka za Pulezidenti bwebaali mukunoonya akalulu ka Arua Municipality mu August 2018.
Ssenyange agiddwa mu bawangizi ba People Power Our Power Our Power ababadde bakungaanidde ku Kkooti e Gulu nga bazze okubaawo nga abajulizi nga Ababaka ba Palamenti okuli Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine, Kassiano Wadiri n’abalala abavunaanibwa omusango gw’okulya mu nsi yaabwe olukwe nga bawozesebwa.
Ono akwatiddwa nateekebwa mu motoka ekika kya Premio nnamba UBE 128F natwalibwa mu kifo ekitanategeerekeka. Abawagizi ba People power bagezezaako okunnunula omuntu waabwe wabula Poliisi nebasinza amaanyi.

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

More Stories
ab’ekika ky’enkerebwe bafunye omutaka omuggya