Breaking
News: Munnamateeka Kenneth Paul Kakande ……..Hon. News: Oyo yenna aneetaba mu Ngule tosigalira, jangu nendukusa yo e Bukoto ku Simba mwewandiise. News: Luggya Bossa Tabula amaziga gamuyiseemu oluvannyuma lwomulamuzi okubasingisa omusango ye ne kizibwe we Luggya Noah omusango gwokutta eyali Omukulu
ON NOW Gasimbagane ▶ UP NEXT Weekend Taxi 12:00 PM - 2:00 PM
Now Playing · 1,166 listening Simba FM Live
gasimbagane show photo

On Air

Gasimbagane

Peter Kibazo

10:00 AM - 12:00 PM 10:00 AM - 12:00 PM

Agambibwa okutta omuyimbi Mowzey Radio asindikiddwa mu kkooti enkulu

June 19, 2018 · Mubiru Ali

Godfrey Wamala nga ono yavunaanibwa ogw’okutta omuyimbi Moses Ssekibogo eyali amanyiddwa nga Mowzey Radio asindikiddwa mu kkooti enkulu y’eba emuvunaana.

Omulamuzi omukulu ow’ekkooti y’e Entebe Suzan Okeny agamamba nti oludda oluwaabi olukulemberwamu Julius Muhiirwe lumaze okukola okunoonyereza ku musango gw’okutta oguvunaanibwa Wamala amannyiddwa nga  Troy. Julius afamba nti oludda oluwaabi lumaze okukungaanya obujulizi obumala okulumika Wamala agambibwa okuba nti yaliwo mu kifo webakubira Radio mu bbaala ya De Bar Entebe gyeyafunira ebisago ebyamuviirako okufiira mu ddwaliiro lya Case e Kampala.

Troy yali akola nga kanyama ku bbaala ya De Bar era nga yakwatibwa oluvannyuma lw’ebigabibwa nti baali balwanye ne Radio era bwatyo navunaanibwa ogw’okutta. Ono yaziddwayo mu kkomera e Kigo nga bwalindirira okutwalibwa mu kkooti enkulu okuvunaanibwa.