Breaking
News: Okwewandiisa mu Ngule kugenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. Yanguwako tukulinze. News: Hon. Amelia Kyambadde atabukidde eyali Omubaka Hon. News: OLUTINDO-Hon. Ssekitooleko-Omusolo gwowa olina gulabira Mulago mu Ddwaliro! Omusolo gususse gulagawa
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing ยท 487 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM

Agambibwa okutta Nagiriinya ne Ddereeva we akirizza omusango

February 20, 2023 · Mubiru Ali

Isaac Ssenabulya aka Kisunsu olunaku olwaleero asingisiddwa omusango gwokuwamba wamu n’okutta Abantu 2 oluvannyuma lwokukiriza omusango gwobutemu. Ssenabulya yatta social worker Maria Nagiriinya ne Ddereeva we Ronald Kitayimbwa mu February wa 2019. Oludda oluwaabi lwagala Ssenabulya aweebwe ekibonerezo ekikakali kyakuttibwa olwokutta Abantu 2 abataalina musango kibeere ekyokulabirako eri abalala.
Okusaasirwa kwa Ssenabulya kuli mu mikono gyomulamuzi wa Kkooti Enkulu Isaac Muwata gwasabye amusaasire era neyetondera n’Abafamire ya Nagirinya ne Kitayimbwa. Ssenabulya avunaanibwa nabalala 6 oluvannyuma lwoludda oluwaabi enkya yaleero okusuula emisango gyobutemu egibadde givunaanibwa omuntu owomunaana Raymond Okori Marckos.