Breaking
News: Anaggulangawo ebbaala nga ssaawa mwenda ezolweggulo tezinnawera kanamujjuutuka – Minisita Balaam News: Okwewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. News: Hon. Emmanuel Rwashande Munnakibiina ki National Resistance Movement
ON NOW Binsangawano ▶ UP NEXT Simba Taxi 10:00 AM - 1:00 PM
Now Playing · 1,024 listening Simba FM Live
binsangawano show photo

On Air

Binsangawano

Ndausi - Julius Kidomole - Mbabali

Morning show 6:00 AM - 10:00 AM

Agambibwa okutemula muganzi owa Bank Police emuyodde

August 4, 2017 · Mubiru Ali

Police ya Kira Road egombyemu obwala omukozi wa UMEME , Andrew Okoth ateeberezebwa okutemula muganzi we Fahima Natoolo abadde akola mu Tropical Bank. 

Okoth,  Police emuguddeko e Kiwatule mu Kampala nga yeekwese mu muzigo  era ayogerera Police mu Kampala n’emiriraano , Emilian Kayima ategeezezza nti omuvubuka ono bamusanze n’omuwala omulala mu muzigo mwebamuggye gwagamba nti ye muganzi we.

Okoth agambibwa okutta muganzi we ono mu maka ge  e Mbwalwa okuliraana Namugongo nga n’ensonga eyamuviirako okukola kino tennategeerekeka. 

Kayima agamba nti Okoth agenda kusimbibwa mu mbuga z’ateeka avunaanibwe kubanga kirabika yaaliba nga alia n’emisango emirala Police gyetannazuula