Breaking
News: Ekimotoka kyenkokoto ekya Hardware World kyabuddeko mixer neggwa eri olunaku lweggulo! News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa matenda ekintabuntisi leero ku nnya ekiro girindirire ngabakontanyi nendukusa zaabwe nga News: Bishop wa North Karamoja Diocese, Rt. Rev.
ON NOW Binsangawano ▶ UP NEXT Simba Taxi 10:00 AM - 1:00 PM
Now Playing · 795 listening Simba FM Live
binsangawano show photo

On Air

Binsangawano

Ndausi - Julius Kidomole - Mbabali

Morning show 6:00 AM - 10:00 AM
News

Agambibwa okukuba omuyindi namubbako ebibye ku ESO Corner asindikiddwa e Luzira

August 8, 2024 · Mubiru Ali

Omulamuzi wa Kkooti ya Buganda Road Jalia Basajjabalaba olunaku olwaleero asindise ku alimanda omuvubuka Mubaraka Sharayimu aka Musiraamu Mudandiri 24 ku alimanda mu kkomera e Luzira okutuusa nga 21 – August nga kigambibwa nti ono yali omu ku kibinja ky’ababbi abalumba Munnansi wa Buyindi ku ESO Corner mu Kampala nebamubkuba wamu n’okumubbako ebintu bye.
Mubaraka nga mutuuze mu Nsooba Zone okuliraana Kalerwe yakwatibwa kkamera enkettabikolwa ngakuba Joshi Keshav namubbako ensawo omwali Laptop, ssente enkalu emitwalo 15, charger n’ebisumuluzo nga byonna bibalirirwamu obukadde 2 n’ekitundu.
Oludda oluwaabi lugamba nti Mubaraka yakozesa ejjambiya okuzza omusango guno nga 15-July-2024. Ono takiriziddwa kwewozaako kuba omusango gweyazza gwa nnaggomola nga guwulirwa Kkooti Enkulu yokka.
Uganda Police Force egamba nti ekyayigga banne bwebazza omusango guno.
Bya Christina Nabatanzi
#ffemmwemmweffe